Job 35

1Eriku n’ayongera okwogera nti,

2“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
3 aAte obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

4“Nandyagadde okukuddamu
ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
5 bTunula eri eggulu olabe;
tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
6 cSinga oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
7 dBw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
8Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
9 eAbantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 fNaye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
atuwa ennyimba ekiro,
11 gatuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 hNewaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 iDdala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
Ayinzabyonna takufaako.
14 jKale kiba kitya
bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
era oteekwa okumulindirira;
15oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 kKale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”
Copyright information for LugEEEE